TUSAULA EMISOLO MINGI: Ab'amalwaliro g'obwannanyini e Mukono basobeddwa
Ab'amalwaliro g'obwannanyini e Mukono bakukulumidde gav’t okubabinika omusolo omuyitirivu ogubaviiraako ate okusasuza abalwadde sente enyingi.
Omubaka w’ekitundu kino mu palamenti Betty Nambooze agamba kino kyekiviirideko abantu okwejjanjaba ekintu eky’obulabe olw’okulemererwa ssente ezibasabibwa mu malwaliro.