Eby’obugagga bya Majid Musisi, wabaluseewo obutakkaanya wakati w’abaana ne nnamwandu
Wabalusewo obutakkaanya wakati w’abaana b’omugenzi Majid Musisi, eyali emmunyeenye ya Uganda mu kukyanga endiba ng'etabwe eva ku bya bugagga omugenzi bye yaleka.Tukitegedde nti omu ku baana alina entekaateka ezitunda emu ku nnyumba z'omugenzi, banne kyebawakanya nga balumiriza nti kitaabwe yagibalekera kufunamu nsimbi ezibalabirira.Enyumba eyogerwako esangibwa Muyenga. Waliwo emikwano egigezezzaako okuyingirawo okutabaganya abaana, naye bagamba bakyalemereddwa.