Uganda yakutandika okukozesa empiso eziyiza ssiriimu ku nkomerero y’omwaka guno
Okunoonyereza ku kawuka akaleeta mukenenya kwandiba nga kwongedde okuwa essuubi, oluvannyuma lwokunonyereza okwakolebwa university y'e Makerere ne John Hopkins University okuvumbula eddagala erisobola okuziyiza obulwadde buno nga lya mpiso ekubibwa omuntu omulundi gumu mu mwaka.Bano kye bakazuula ekyakakasiddwa okutandika okukozesebwa y'empiso ekubibwa emirundi ebiri mu mwaka buli luvannyuma lwa myezi 6.Tukitegedde nti Uganda yanditandika okweyambisa empiso eno ku nkomerero y'omwaka guno era nga abakulu mu Uganda AIDS commission batubuulidde nti kino kyandiyambako mu kukendeeza emisinde abantu kwe bafunira obulwadde buno.