BWERA PRIMARY SCHOOL: Embeera y’ebibiina abayizi mwe basomera yennyamiza
Abatwala essomero lya gavumenti erya Bwera Primary beekubidde enduulu eri abakulu olw'ebizimbe by'essomero lino ebiri mu mbeera embi era nga nenguudo ezituukayo teziyitikamu. Bano bagamba nti embeera eno eviiriddeko abayizi okuwanduka mu ssomero lino ekyongedde okugotaanya ebyenjigiriza mu kitundu.