Abalo yafa atya? Waliwo abeekubidde enduulu, poliisi etandise okunoonyereza
Abacholi abawangaalira mu disitulikiti y’e Kiryandongo bali mu kutya oluvanyuma lwa munnaabwe okufa mu ngeri etategeerekeka n’oluvanyuma n’aziikibwa mu maka agamu mu kitundu kino. Bano, nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Thomas Ocaya, bakukulumidde poliisi okuyimbula abantu abaali bakwatiddwa olw'ettemu lino.