Empaka za Woodball: Kampala University ekomyewo na buwanguzi mu za Taifa
Ttiimu ya Kampala University ewangudde empaka za Taifa International Woodball championship ezibadde mu kibuga Thika ekya Kenya. Ku midali gya zaabu ekumi n'ebiri egibadde mu mpaka zinno, aba Kampala University bawanguddeko musanvu nebasitukira mu kikopo ky'empaka zino eky'omulindi ogw'okutano. Mount Kenya University yekutte eky'okubiri mu mpaka zinno ezetabiddwamu tiimu kumi nasssatu okuva mu mawanga agenjawulo., aba Kampala University baniriziddwa abakulira etendekero lino abakuembeddwamu Sarah Katerrega.