TUKOOYE OKUTULINZA: E Buwama -Mpigi abatuuze beelongoserezza e kkubo
Abatuuze mu Town council ye Buwama bakadde kwekemba ne beekolera oluguudo oluludde ebanga nga lubatawaanya , kyoka nga abakulembeze tebafaayo. Ekubo lino ly’erigatta Mawokota ku Butambala nga litandikira Mbizzinnya kyoka nga lyonna lijjudde ebinya. Bano basazeewo okukoma okwegayirira abakulembeze,ne beekwatiramu.