Tugenda mu kkooti: Abaasendebwa mu Lubigi beekandazze
Abatuuze b’e Nansana Gganda baweze nga bwebagenda okuddukira mu mbuga z’amateeka okuwawabira ekitongole ki NEMA olw’okusenda enyumba zaabwe.
Bano baasendebwa nga kigambibwa nti baali beesenza mu lutobazi lwa Lubigi.
Byo ebikwekweto by’okusenda abantu mu lutobazi luno bikyagenda mu maaso.