Tugenda ku kolawo akatiisa: Aba division y'e Makindye batabukidde KCCA
Abakulembeze mu divison y’e Makindye nga bakulembeddwamu sipiika waayo baagala ekitongole ki KCCA kibabuulire ensimbi zabaweebwa okudaabiraza ebintu eby’enjawulo mu kiseera eggwanga we lyategekera olukungaana lwa NAM kubanga bbo tewali kyebalaba.Bano bagamba n’enguudo zebaagamba okukola tezaakolebwa nga kwotadde n’ebintu ebirala.Okwogera bina babadde bagenze okulambula ezimu ku nguudo ezigambibwa nti zaakolebwa embeera mweziri - wano webasabidde KCCA eveeyo ebereeko kyenyonyola nga bwebalemererwa bakulaba eky’okuzaako.