PROSSY NANKUNDA ALINA EKIZIBU KY'OKUWULIRA :Abasawo baamusaba agule obuuma (0772-989574)
Prossy Nankunda okuva e Bushenyi alina ekizibu ky’okuwulira nga kino kyamuviirako n’okugobwa ku mulimu olw’obutawulira.
Yagenda mu ddwaliro nebamwekebejja abasawo nebanoonya obuzibu kwebuva nebubabula kyoka nga bakikakkasa nti okuwulira kwe kugenda kukendeera.
Kati ono bamusabye okuggula obuuma bw'omumattu bumusobozese okuwulira, ensimbi zatalina.