PARISH DEVELOPMENT MODEL: Minisita asabye abagagga obutayaayanira ssente zino
Minisita w’eby’obulimi n’obulunzi Frank Tumwebaze, asabye abantu abalina ku ssente, enteekateeka ya Parish dev’t model bagyirekera abatalina nabo basobole okwekulaakulanya.
Agamba enteekateeka eno y’abantu abatalina nabo okusobola okwejja mu bwavu - okwogera bino abadde asisinkanye ebibiina by’abalimi ku minisitule y’eby’obulimi mu Kampala.