OMUSANGO GWA SSEGIRINYA NE SSEWANYANA :Omulamuzi ayagala gav't ereete obujjulizi mu bwangu
Kooti esookerwako e Masaka eragidde omuwaabi wa gavumenti ali mu musango gw’ababaka Muhammed Ssegirinya ne Allan Ssewanyana okuwa nsalesale ddi lwebagenda okumaliriza okunoonyereza abakwate basindikibwe mu kkooti enkulu. Kooti y’emu eragidde ab’ekkomera ly’e Kigo okukkiriza ababaka bano okulaba ab'enganda zaabwe ne ba puliida baabwe nga bagoberera ebiragiro by’okwetangira ekirwadde ki Covid 19 awatali kakwakulizo konna. Olwaleero ababaka bano babadde balabiseemu mu maaso g’omulamuzi mu kooti ensokerwako ku misango egyibavunaanibwa okuli egy’obutemu n’obutujju.