OKUTUUKIRIZA OBWEYAMO: Aba Bravo batutte Muwanguzi ku somero
Omwaka oguwedde twakulaga omwana ow’emyaka 12 Muwanguzi Kaziro nga alabirira kitaawe ow’emyaka 72.
Abantu bangi bavaayo okumudduukirira nga mwemwali n’aba Bravo Shoes abamusuubiza okumuweerera kyabatuukiriza olwaleero.
Bano bamututte mu ssomero li Namuwaya Education Center e Kirinya.