OKUMALAWO EBBULA LY'EMIRIMU :DIT basse omukago ne Buganda
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekitongole ekigezesa eby’emikono ki Directorate of Industrial Training okuyitimusa amasomo g’eby’emikono mu masaza ga Buganda gonna. Bano baakugezesa abantu ku mirimo gyebakola gyenyini oluvanyuma bakolagane ne Buganda Royal Insititute okubawa amabaluwa ga DIT agabakakasa ku mirimu egyo. Buganda esiimye entekateeka eno egendenderedwamu okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu Buganda.