OKULWANYISA EKIRWADDE KYA EBOLA :Gavumenti esse omukago n'abasawo b'ekinnansi
Minisitule y’e by’obulamu kko n'ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu basse omukago okugatta amaanyi balwanyise ekirwadde kya Ebola ekiwanise amatanga mu uganda. Bino bituukiddwako mu musomo ogutegekeddwa ku kitebe kya disitulikiti y’e Wakiso,omubadde okubangula abasawo b’e kinansi ku kirwadde ki Ebola.