OKUJUNA ABALI MU BWETAAVU: Abakadde abaayokerwa enju e Masaka badduukiriddwa
Gyebuvuddeko twakulaga abakadde Ssaalongo ne Nnalongo Kakooza ng’abantu abatanamanyika babookedde ennyubwa bwe baali bagenze mu nimiro okukakana nga ebintu byabwe byonna biwedewo. Kati olwaleero abazira kisa abadduukiridde abakade bano n’ebintu eby’enjawulo okubanaazaako ennaku, oluvannyuma lw’okulaba emboozi eno ku Spark tv.