OBUNKENKE E KATOOKE -NANSANA :Ateebereeba okuba owa ADF akwatiddwa
Ebitongole b’eby’okwerinda byazinzeeko amaka ga Musa Kabanda agasangibwa e Katooke mu Nansana nga ateeberezebwa okuba omu kubayeekera ba ADF. Ekiro kyona ekyakeeseza olwaleero amaka gano gaasuze gakuumibwa butiribiri era obudde olukedde negaazibwa.