Obulumi bw'omuggalo e Mubende n'e Kassanda
Baneekolera gyange mu disitulikiti y’e Mubende balaajanidde gavumenti eddirize ku muggalo basobole okufuna ejjamba. Bagamba nti bukyanga muggalo gulangirirwa abaguzi baabula naddala eri bamakanika, abookya ebyuma, abamaduuka kko n’abalala. Bateesa nti waakiri emmotoka entono zikkirizibwe okutambuza omuntu omu oba babiri nga bwegwali mu muggalo gwa COVID-19.