MUNAANA BAKWATIDDWA :Poliisi egamba bebali emabega w'okutta abaserikale
Poliisi etegeezeza nga bwekutte abavubuka munaana abateeberezebwa okwenyigira mu kutta abaserikale nebabba emundu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Bano bakwatiddwa mu bikwekweto bya Flying Squad ebizze bikolebwa n’ebitongole ebikessi. Kigambibwa nti bano babadde n’ekigendererwa eky’okulumba zi poliisi eziwera nga babba emmundu n’ekigendererwa ky’okumamulako gav’t.