Eyatutte omukazi okwesanyusamu afiiridde mu nyumba
Poliisi y’e Kasana mu disitulikiti y’e Luweero eriko omusajja gw’ekutte ng’emuteebereza okubaako n’ekyamanyi ku nfa y’omukyala gweyabadde yesanyusa naye. Kigambibwa omusajja ono aliko omukyala gweyafunye mu baala ekiro ekyakeeseza eggulo n’amutwala awaka besanyuseemu kyoka n’amufaako ng’a bali mu kikolwa. Poliisi egamba ono yabadde egezaako okutwala omulambo agusuule kwekumukwata nga gweyabadde ayise okumuyamba yeyatemezza ku poliisi.