E Kamuli waliwo ababba abalwadde mu malwaliro
E kamuli kizuuse nga waliwo abasawo abava ku bulwaliro obutono ne bawudiisa abalwadde abali mu ddwaliro edene elye kamuli li Kamuli general hospital, okukakana nga babatutte mu bulwaliro bwabwe.
Akulira eddwaliro lye Kamuli general hospital Dr. Zaidi Atuma, agamba nti bano bakozesa olulujjukujju ne bajja ensimbi enyingi ku balwadde nga beefudde abagenda okubawa obujanjabi obusinga.
Omubaka wa pulezident mu kitundu kino avumiridde ekikolwa kino.