Basatu bakwatiddwa ne Boda Boda enzibe e Katwe
Poliisi ye katwe wano mu kampala eriko abantu basatu b’ekutte nga bateberezebwa okwetaba mu bubbi bwa bodaboda, oluvanyuma ne bazikyusa ennamba. Abasatu bano bajjiddwa mu bitundu bye katwe ebyenjawulo oluvanyuma lwa poliisi okubalinya akagere okumala ebbanga. Mukiseera kino bakumirwa ku police y’e katwe.