Abatuuze b’e Bulenga balumiriza abamu ku ba poliisi okubasibako obumanyi bw'amateeka
Abatuuze b’e Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso balumiriza abamu ku ba poliisi okubasibako obumanyi bw'amateeka mu kitundu kyabwe. Bagamba nti emirundu mingi batwala abamenyi b'amateeka ku poliisi kyokka n’emaliriza nga ebayimbudde awatali kuvunaanwa. Okwogera bino babadde mu lukungaana lw’eby'okwerinda ku kyalo kino omubadde n’ab’eby’okwerinda - kati bano basabye bakolagane baddemu buto okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obususse mu kitundu kino.