ABATEMYE ENTE E KYANGWALI: Poliisi ekutte abatuuze 5, ssentebe ne nabakyala tebaluwonye
Abantu 5 bebakakwatibwa n’abalala abasukka mu 20 bakyaliira ku nsiko oluvanyuma lw’okukakkana ku nte za mutuuze munaabwe ezisoba mu 40 nebazitematema nebadda neku nyumba ze nebazookya e Kyangwali mu disitulikiti y’e Kikuube. Obuzibu bwa nkaayana ku ttaka.