Abalamazi abavudde Ankole batuuse e Masaka
Abalamazi abavudde Ankole batuuse mu kibuga kye Masaka ku lugendo lwabwe olunabatuusa e Namugongo. E Masaka bano batuuse bakoowu, abamu bazimbye ebigere, songa abalala embeera ebayinze batambuza miggo. Balina esuubi nti singa mpaawo kikyukamu, misa ya sande eno bakugiyimbira wamu ne banaabwe e Namugongo.