Abakyala e Ssembabule balaze okutya nti bandiremererwa okuganyulwa mu nsimbi za Grow
Abakyala mu disitulikiti y'e Ssembabule balaze okutya nti bandiremererwa okuganyulwa mu nsimbi za Grow olw’obukwakulizo obuzitereddwako obususse. Ekisinga okubalumya omutwe gw’emusingo ogubasabibwa okubawa ssente zino omuli n’okuwaayo ebyappa, kaadi y’e mmotoka n’ebirala.