Aba FDC bawakanyizza ekya gavt okuzimba enguudo e Congo
Poliisi eriko bana kibiina ki FDC 5 beekutte mu Kampala nga bano babade boolekera palamenti okutwalayo okwemulugunya kwabwe eri sipiika Rebeecca Kadaga nga bawakanya ekya gav’t okuzimba enguudo mu ggwanga lya Congo.
Kubakwatidwa kuliko Stellah Nyanzi, Herold Kaija, Habib Buwebo n’abalala.
Poliisi egamba nti bano babade bakubye olukung’aana ekimemya amateeka.