Wuuno omu ku bakwasi ba goolo ya Crested Cranes
Nga ttiimu y'eggwanga eyabakyala abazannya ogwebigere yeetegekera okwolekerera Morroco okwetaba mu mpaka za AFCON w'abakyala, ezitandika omwezi ogujja, abagusambira ebweru bonna kati bamaze okwegatta ku ttiimu. Omu ku bano ye Vanessa Edith Karungi akwata ggoolo ya Club ya B93 Copenhagen e Denmark.