Wuuno Fazirah Ikwaput, omuteebi wa tiimu y’abakyala abasamba omupiira
Ttiimu y’eggwanga ey’abakyala abasamba omupiira gw’ebigere ‘ Crested Cranes’ esimbula sabiiti ejja okwolekera eggwanga lya Moroco gyebagenda okutunka mu mpaka z’ekikopo kya Africa ez’omupiira gwa abakazi. Mubazannyi amakumi abiri mu abasatu abasuubirwa okulondebwa ku ttimu kwekuli ne Fazila Ikwaput ey’efudde muyizi tasubwa buli lw’aweebwa omukisa okusambira tiimu y’eggwanga. Twogedeko n’omusambi ono natubulira ebirubirirwa bye mu muzannyo gw’omupiira.