Waliwo abasindikiddwa e China okukuguka mu nkola ya 'AI’
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja olwaleero aliko abayizi baasiibudde okwolekera eggwanga lya China okwetaba mu kutendekebwa ku ngeri ebyuma bikalimagezi gye biyinza okweyambisibwa okukola nga omuntu ssaako ne tekikologiya omulala. Abayizi abasimbuddwa baasunsulwamu aba Huawei Technologies era bajja kwetaba mu kutendekebwa kwa 2024 okwa Huawei LEAP Digital Talent mu kibuga Shenzhen mu China.