UCU Lady Canons ekubye KIU Rangers mu mpaka za basketball
Mu mizannyo gye nsero egizannyiddwa olunaku olwa leero, ttiimu ya UCU Lady Canons ekubye KIU Rangers ensero 62 ku 43. Kati UCU etunuulidde kuwangula enzannya bbiri zokka ku nnya ezisigaddeyo okusobola owesogga fayinolo. Bano baakuddamu okuttunka ku lunaku olw'okusatu.