TWETAAGA OMUKAGO MU BY’EMMWAANYI: Katikkiro Mayiga awabudde aba Gav’t eya wakati
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga awadde amagezi abakulu mu gavumenti eya wakati, naddala ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwaanyi, ki Uganda Coffee Development Authority okuzza obuggya endagaano n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwaanyi mu nsi yonna ki International Coffee Organization. Uganda yasalawo eve mu ndagaaano n'ekitongole kino kyokka waliwo abagamba nti kino kigenda okukosa abalimi b'emmwaanyi mu Uganda