Ttiimu y'ebikonde esimbuddwa okugenda mu Olympics
Ttiimu y'eggwanga eyabazannyi b'ebikonde y'abantu basatu esimbuddwa olwaleero nga ku lwokutaano lwesuubira okusitula eyolekere eggwanga lya Japan okwetaba mu mpala za Olympics ezigenda okuyindira mu kibuga Tokyo. Shadir Bwogi, David Ssemujju ne Catherine Nanziri be bazannyi abagenda okukiikirira eggwanga mu mpaka zino ezitandika nga 23 July omwaka guno. Omutendesi wa ttiimu eno Patrick Lihanda alina essuubi mu bazannyi be.