TTENA MU MASOMERO: Yiino ttiimu eyaleeta ekikomo mu z’ensi yonna
Tiimu ya Uganda eyabayizi abali wansi w’emyaka ekkumi n’etano ey’omuzannyo gwa Table Tennis yakwata ekifo kya kusatu mu mpaka z’amasomero ez’ensi yonna bwetyo newangula omudali gwa Bronze. Bano era bawangula bronze mu mapa za balenze eza double nebakomawo ne midaali ebiri. Tutuseeko mu nkambi ya Mbale Tigers bamusayimuto abakikirira eggwanga mu mpaka zino gyebatendekerwa, olugendo lwe Serbia nebalutuvira ku ntono.