Rwashande asuubizza okussa essira ku kulwanirira abatuuze abagobaganyizibwa ku ttaka e Lwemiyaga
Oluvannyuma lw'okuwangula bendera y'ekibiina ku kifo ky'omubaka wa Lwemiyaga, Munnamagye Emmanuel Rwashande agamba nti waakussa essira ku kulwanirira abatuuze abagobaganyizibwa ku ttaka Mu lukungaana lwakubye okwebaza bannakibiina okumuwa akalulu Rwashande ne banna NRM abalala abalina bendera ya NRM mu disitulikiti ye Ssembabule bagamba baakunyweza obumu okusobola okuwangula akalulu ka 2026 basobole okutuusa obuweereza ku baabalonda.