Ssenyonyi azzeemu okwambalira ebitongole by'okwerinda ebigufudde omuze okuwamba nga bannayuganda
Akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Joel Ssenyonyi azzeemu okwambalira ebitongole by'okwerinda ebigufudde omuze okuwamba nga bannayuganda. Ono abadde ayogera ku kubuzibwawo kwa Pulezidenti wa Uganda Federal Alliance Luggya Kayingo amaze ebbanga erisukka mu wiiki emu nga tamanyiddwako mayitire Luggya yabuzibwawo nga yakatonnya ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe ngava mu ggwanaga lya South Africa ku lwokuna lwa nga 17 omwezi guno