Nazzikuno: Engeri abedda gye baakolangamu emikalabanda
Amagezi g'okuyiiya engatto, bajajjaffe baagatandika ebyasa bingi ebiyise. Bano basooka kwenyiwa maggwa kubafumita nga bali ku miyiggo era ku nsolo ze bayigga, baavumbula nti embogo evaako eddiba erikola engatto ennungi. Zino baaziyitanga Kagabire wabula Embogo bwe zaagenda zifuuka ka kekkwa baalina okuyiiya engeri endala era wano we waava engatto eziyitibwa Emikalabanda. Mu Nazzikuno olwaleero, RONALD SENVUMA atuzizzaayo mu biro biri okutulaga enkola y'emikalabanda gino.