Ez’amasomero ga Africa: Leero lwe zitongozeddwa mu ggwanga lya Algeria
Empaka z'amasomero ga Africa ezimanyiddwa nga ANOCA games ziguddwawo mu butongole olunaku olwaleero mu ggwanga lya Algeria nga bannayuganda baakutandika n'omuzannyo gw'okuwuga olunaku olwenkya. Mu mpaka zino Uganda ekiikiriddwa amasomero okuli Buddo SS, Ngora High School, Seroma Christian High School ne Gayaza High School mu mizannyo egy'enjawulo