Okulamaga e Waluleeta: Ekifo weyazaalibwa kisummuusiddwa okufuuka ekisomesa
Omwepisikoopi w’essaza lya Kasana-Luweero Kitaffe mu Katonda Lawrence Mukasa y’enyamidde olw’okukiriza okugenze mu kendeera mu bantu. Mukasa agamba nti ku mulembe guno, tewakyali bantu bewaayo nnyo kutakabanira ddiini zaabwe nga bwegwali ku mulembe oguyise, nasaba abakiriza okwekuba mu kifuba. Bino abyogeredde Waluleeta mu District y’e Luweero gyakulembereddemu missa y’okulamaga, ku kyalo Kizito, omu ku bajjulizi ba Uganda era eyali asiinga obuto kwazaalibwa. Era wano wasinzidde natongoza ekigo oba Parish y’e Waluleeta eyasuumusizza okuva mu ddaala ly’e Kisomesa.