PPIKIPIKI EZAAKWATIBWA: Ba nnyini zo tebalabikako, zanditundibwa ku nnyondo
Poliisi etubuulidde nga bwe batuuse okutunda Bodaboda eziri eyo mu 500 ezizze ziwambibwa ku bagoba baazo mu biseera bya kaafiyu kyokka ne balemererwa okuziddukira. Poliisi esuubira okukolagana n’ekitongole ekisolooza ky’omusolo ku Uganda Revenue Authority bazuule ebikwata ku pikipiki zino, eolwo bazirange nga bayita ba nnyini zo era singa tebaaziddukire, olwo zitundibwe ku nnyondo