Poliisi y'e Jinja erinnye eggere mu lukungaana olubadde lutegekeddwa bannakibiina ki NUP
Poliisi y'e Jinja erinnye eggere mu lukungaana olubadde lutegekeddwa bannakibiina ki NUP abawagira Sulaiman Namwoza omu ku beegwanyiza ekifo ky'omubaka wa Jinja South West. Poliisi etegeezezza ng'olukungaana luno bwe lutabadde mu mateeka yadde nga abalutegese bagamba nti baafuna olukusa okugenda mu maaso n'olukungaana lwabwe.