Poliisi enoonyereza okuzuula amayitire ga munnansi wa buyindi Mukesh Kumar
Poliisi erikumuyiggo gwomusajja munnansi wa buyindi ategeerekese nga ye Mukesh Kumar Menaria agambibwa okuba nti abuze okumala kati emyezi ebiri. Ono nga mufumbi omutendeke agambibwa okuba nga yali akola mu maka ga Oswal mu ggwanga lya Switzerland wabula bakamaabe nebamuleeta mu uganda oluvannyuma lwokubaloopa ku poliisi ye Switzerland nti bano bamutulugunya n’okumumma paasipooti ye adde ewabwe e buyindi. Kati aba famire ya Menaria baaloopa omusango mu poliisi yensi yonna eyayaza amaka ga Oswal mu Uganda agasangibwa e Luwero wabula tebaamusangayo.