OMUYIZI EYATTIDDWA E MAKERERE : Okulonda kuyimiriziddwa, 3 bakwatiddwa, kuliko n’omubaka
Akakiiko akafuzi akaddukanya ettendekero ekkulu ery'e Makerere kayimirizza enteekateeka zonna ez'okulonda obukulembeze bw'abayizi oluvannyuma lw'omuyizi wa Uganga Christian University okufumitibwa ekiso n'afa wakati mu kavuyo akabaluseewo olunaku lw'eggulo ng'abeesimbyewo banoonya akalulu. Okusinziira ku Yusuf Kiranda omuwandiisi w'akakiiko kano, enteekateeka zino ziyimiriziddwa okusobozesa okunoonyereza ku byabaddewo okugenda mu maaso.Wateereddwawo n'akakiiko akenjawulo okutunuulira emiwaatwa egiri mu by'okulonda omukulembeze w'abayizi ku ttendekero lino Kitegerekese nga ne Kampeyini kati bwezigya okukolebwa ku mutimbagano oba mu nkola eya virtual.