OMUKAGO GWA EAST AFRICA : DRC ekakasiddwa mu butongole
Pulezidenti wa Democratic republic of Congo Felix Tshishekedi atadde omukono kundagaano ezikakasa nga eggwanga lyakulembera bweriyingizibwa mu mukago gwa mawanga ga East Africa buterevu okutandika n’olwaleero.Omukolo guno gubadde mu makka g’obwa Pulezidenti mu ggwanga lya Kenya .Pulezidenti Uhuru Kenyatta owa Kenya , Yoweri Museveni owa Uganda ne Paul Kagame owa Rwanda tebalutidde mwana .