OMUGGALO KU KASSANDA - MUBENDE: Ab’oludda oluvuganya bawabudde gavumenti
Ebyo nga bikyali bityo ba Minisita ku ludda oluvuganya gavumenti bagamba nti embeera eri e Mubende ne Kassanda ereetawo ebibuuzo oba ddala omuggalo gwali gwetaagisa. Bano bagamba nti namba y'abantu abakwatibwa obulwadde buno n'abo abafa , kabonero akalaga nti omuggalo teguvuddemu kalungi. Dr. Timoth Batuwa nga ye Minisita w'ebyobulamu ku ludda oluvuganya agamba ekyetaagisa ye gavumenti okulondoola famire zaabo abafiiriddwa oba abalimu abantu abalina ekirwadde kya Ebola olwo nebaweebwa ebyetaagisa okwekuuma Ebola engeri gyekiri nti okukwata omuntu ava ku mulwadde amaze okulaga obubonero.