OLUTALO KU COVID-19: Waliwo abakubye ttooki mu kaweefube wa Uganda
Gikunnukkiriza okuwera emyaka 2 bukyanga gavumenti yakuno etandika ku kaweefube w'okulwanisa ekirwadde kya covid 19 ekya balukawo mu nsi yonnna ku nkomerero ya 2019. Wano mu Uganda obulwadde bunno bwakuba kkoodi mu mwezi gw'okusatu era ng'okuva olwo gavumenti ezze ewerenemba nabwo. Kati nga 2021 aggwaako, tukubye toochi mu lutalo lw’okulwanisa ekirwadde kino