OKWEKALAKAASA OLW’AMAFUTA: E Jinja bazibye enguudo, mmotoka zaasiddwa endabirwamu
Poliisi n'amagye biyiiriddwa mu kibuga Jinja naddala ku nguudo okukedde okubeera okwekalakaasa okwekuusa ku bbeeyi y'amafuta egekanamye. Wabula abekalaaasi bano basiwuuse empisa nebakuba abantu, saako okubabba so nga nemmotoka zaasidwda endabirwamu.Ebyentambula bisanyaladde okumala ekiseera, wabula nga waliwo abakwatiddwa. Wano mu Kampala eby'okwerinda bisiibye binywevu ddala ,wakati mu kutya nti wayiza okubaawo okwekalakaasa .a magye ne Poliisi birabidwdako nga birawuna enguudo ezitali zimu