OKUZUULA EBOLA: Abakulembeze bagamba okulowooleza mu ddogo kwalemesa ab’eby’obulamu
Abakulembezee mu disitulikiti ye Mubende bagamba nti ekyabantu okulowooleza mu ddogo ky'ekimu kwebyo ebyaviirako ab'ebyobulamu okulwawo okuzuula ekirwadde kya Ebola nga kino kyaleetera abantu abawera okufa ekirwadde kino Bano bagamba nti nga minisitule y'ebyobulamu tennalangirira kubalukawo kwa Ebola waliwo abantu abajja nga bafa mu ngeri etategeerekeka naddala mu magombola okuli Madudu ne Kiruuma.