OKUYITA MU KKUUMIRO LYA MURCHISON: UWA egamba ssi yaakulekerawo kusolooza ssente ku basaabaze
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omunsiko ki Uganda Wildlife Authority kikikkaatirizza nti tekigenda kulekera awo kusolooza nsimbi ku basabaaze abaagala okuyita mu kkuumiro lya Murchsion Falls. Ababaka abava mu kitundu ky'omumambuka olwaleero bavudde mu mbeera nga baagala UWA ebannyonnyole lwaki ekyasolooza ensimbi zino,so nga ku basabaaze tekuli ayitirayo kyeyagalire. Kyokka aba UWA bagamba nti nabo gwe mukisa gwe balina okukola ku nnusu okusobola okuyimirizaawo emirimu gyabwe.