Okuwandiisa abalimi b’emmwanyi: Waliwo abawadde gav’t amagezi ku kwanguya enteekateeka
Abalimi n'abasuubuzi b'emmwanyi bagamba nti ekya gavumenti okutandika okuwandiisa abalimi b'emmwanyi nga tesoose kubasomesa kyandiviirako enteekateeka eno okutambula akasoobo nga kiva ku balimi okugyebalama. Newankubadde nga mu kuwandiisa kuno gavumenti egenderera kutuukiriza bukwakkulizo obwateekebwawo omukago gwa Bulaaya okusobola okukuuma obutonde bw'ensi, abalimi bakyalina ebibuuzo bingi.